Amawulire

Uganda ne S Sudan bagenda kulawuna oluguudo lwa Juba-Nimule

Uganda ne S Sudan bagenda kulawuna oluguudo lwa Juba-Nimule

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Gavumenti ya Uganda ne balirwana aba South Sudan bakanyizza, okukolera awamu okulawuna oluguudo lwa Nimule-Juba okusobola okukuuma abasubuzi abalukozesa.

Endagaano wakati wa gavumenti zombi yatukiddwako, oluvanyuma lwobulumbaganyi obubadde bweyongedde okukolebwa ku basubuzi, abagoba ba loole naba baasi.

Amyuka Ssabaminisita wegwanga Rebecca Kadaga agambye nti mu ndagaano gyebakoze poliisi zamawanga gombi, zigend kuteeka emisanvu oba check point ku luguudo luno, buli luvanyuma lwa KM 10.

Abasubuzi abasoba mu 30 bebakattibwa omwaka guno, abava mu mawanga ga East Africa agenjawulo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *