Amawulire

Uganda eyagala kuva mu International Coffee Organization (ICO)

Uganda eyagala kuva mu International Coffee Organization (ICO)

Ivan Ssenabulya

October 21st, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Uganda eri mu nteseganya nabekitongole kya International Coffee Organization (ICO) ku nsonga zobwa amemba nebikwata ku ndagaano ya International Coffee Agreement.

International Coffee Organization (ICO) kibiina ekigatta amawanga agalima emwanyi ku mutendera gwensi yonna, wabula nga 10 mu Sebutemba gavumenti ya Uganda yabategeeza nga bwerina entekateeka obutazza bugya nadgaano yaabwe bewandukule mu kibiina kino nga 1 February mu 2022.

Akulira ekitongole kya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) Emmanuel Iyamulemye agambye nti blina bingi byebemulugunyako okugeza emwanyi za Uganda eza ekika kya Robusta okganibwa ku katale kensi yonna.

Minisita omubeezi owebyobulimi Hellen Adoa gyebuvuddeko yatutegeeza ngemwanyi za Uganda bwezitagenda kukosebwa mungeri yonna, ssinga banewandukula okuva mu ICO.