Amawulire

Uganda ekyaali bubi mu nguzi

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

traspaency

Uganda ekwata kya kubiri mu East Africa mu kulya enguzi

Burundi y’esooka mu

Bino biri mu alipoota efulumiziddwa aba transparency international ey’omwaka 2013

Amawanga 177 geegatunuuliddwa nga Uganda eri mu kifo kya 140 mu nsi yonna, Kenya y’eddako awo okulya enguzi, Tanzania n’eddako ate nga Rwanda y’esinga obutabaamu nguzi ng’eri mu kifo kya 49 mu nsi yonna

Wabula yadde Uganda ekyaali bubi, alipoota eraga wabaddewo okusetuuka yadde ssi kwamaanyi.

Akulira ekibiina kino Huguette Labelle agamba nti ebizuuliddwa byooleka nti abantu bavvoola obuyinza, okukuta okulimu okufiiriza gavumenti ensimbi n’okugulirira

Labelle kati ayagala wabeewo okulongoosa ebyobufuzi bijjibweemu enguzi,okununula ebibbiddwa n’okuzimba amasiga ga gavumenti agataliimu nguzi