Amawulire

Uganda bagitadde ku nninga

Uganda bagitadde ku nninga

Ivan Ssenabulya

January 28th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Uganda bagitadde ku nninga babeeko byebatereeza, okulongoosa enkwata yeddembe lyebuntu.

Okusaba kuno kwakoleddwa mu lutuula olwomulundi ogwa 40 olwakakiiko kekibiina kyamawanga amagatte akeddembe lyobuntu olwa Human Rights Council’s Universal Periodic Review (UPR).

Bino byabadde mu kibuga Geneva-Switzerland, ngeno minisita wa Uganda owensonga zebweru Gen Jeje Odong yayanjudde alipoota yegwanga ekwata ku ddembe lyobuntu.

Uganda baaginenyezza olweddembe lyubuntu erigenda lisereba, eddembe okweyogerera, nebaginenya nolwabantu abattibwa abakuuma ddembe mu kwekalakaasa kwa Novemba 2020.

Bino byonna minisita yanyonyodde, nalaga embeera eyaliwo.

Kati abakiise balagidde Uganda nti eteeke mu nkola etteeka ku mutendera gwensi yonna lyebeyama okukuuma, erirwanyisa okutulugunya abantu oba International Protocol against Torture, bakuume eddembe lyabanamagoye mu gwanga, bawere akalabba mu gwanga, bakomye okutulugunya abantu abetaba mu mukwano ogwekikula ekimu, bongere okutekesa mu nkola etteeka erirwanyisa okukekejjula abakzi mu mbugo.

Gavumenti era esabiddwa okubaga etteeka eryenjawulo erinakuuma ebitongole nakyewa, ne bannawulire.

Olutuula luno lwabadde lukubirizibwa omumyuka wa pulezidenti owakakiiko keddembe lyobuntu Amb Andranik Hovhannisyan.