Amawulire

UCHUMI freedom city aggaddewo

Ali Mivule

September 4th, 2014

No comments

UCHUMI

Supamaketi ya Uchumi egaddewo ettabi lyaayo wali ku Freedom City lwabutakola magoba.

Akola nga akulira supamaketi zino mu ggwanga David Mugo agamba suopamaketi eno baalibasuubira nti engeri gyeeli ku luguudo olutambuza abantu abanji bali baakukola nnyo, wabula sibwegubadde.

Mugo agamba okuva mu 2012 bwebagulawo, babadde nakola loosi kale nga tebayinza kugenda maaso nakufiirizibwa.

Wabula bbo abakozi bonna bakutwalibwa mu matabi amalala agali e  Kampala, Mbale ne Gulu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *