Amawulire

Tulina loodimeeya-Ken Lukyamuzi

Ali Mivule

March 8th, 2014

No comments

lukyamuzi 2

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti balumbye akakiiko akalondesa olw’okutegeka okulonda kwa loodimeeya ate nga bakimanyi nti wakyaliwo emisango mu kooti

Kiddiridde akakiiko kano okussaawo olunaku lwa nga 17 omwezi ogujja okulonderako loodimeeya omuggya

Omubaka akiikirira abantu be Rubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi agamba nti kuno kuba kuyisa maaso mu kkooti eyalagira nti Lukwago ye loodimeeya.

Asabye akaakiiko akalondesa okuyimiriza okulonda

Okutuuka ng’enkaayaana eziri mu kooti zigonjoddwa