Amawulire

TTiyagaasi ewa Lukwago- Besigye naye akugiddwa

Ali Mivule

December 2nd, 2013

No comments

police torture

Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba Loodimeeya  Erias Lukwago ababadde bakunganidde mu maka ge e Wakaliga.

Kino kiddiridde Lukwago, okugezako okufuluma amaka ge kyojka polisi n’emugaana.

Kinajjukirwa nti okuva ku makya poliisi eggumbye mu maka ga Lukwago okumuttangira okugenda mu kibuga.

Kati balooya ba Lukwago nga bakulembeddwaamu Medard Segona ne Abdul Katuntu bategeezezza nga bwebagenda mu kooti okubasalirawo oba poliisi erina olukusa oluziyiza abantu okukola ebyaabwe

Yye Loodimeeya Lukwago agamba nti eby’okuteesa gavumenti ebyerabire okutuusa ng’emuyimbudde

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *