Amawulire

Tiimu ye gwanga yediimye

Tiimu ye gwanga yediimye

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2019

No comments

Ng’ebula ssaawa busaawa Uganda okuzannya ne Senegal ku mutendera ogwa team 16 mu mpaka za Africa cup of nations, amawulire agavaayo ssi malungi.

Eno kigambibwa nti abazannyi bediimye okutendekebwa, bwebagaanye okulinnya bus okwolekera ku kisaawe kya Arab contractor’s stadium mu kibuga Cairo mu gwanga lya Misiri.

Banamwulire wamu ne minister webyemizannyo Charles Bakabulindi, bakanyizza kulinda teama nga telabikako.

Abazannyi ba teama ye gwanga kitegezeddwa nti bediimye, nga babanja akasiimo kaabwe ka bukadde 22 kebalina okufuna olwikuwangula DRC namaliri, gebakola ku team ya Zimbabwe.

Abazannyi baabasubiza obukadde 189 nga buli omu waakufuna obukadde 14 nemitwalo 70 nga buli maliiri gebakola, babasubiza obukadde 7 n’emitwalo 30.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *