Amawulire

Tetujja kusindikiriza bava South Sudan-Gavumenti

Ali Mivule

January 25th, 2014

No comments

Museveni and Kiir

Gavumenti etegeezezza nga bw’etagenda kusindikiriza basudan abadduse olutalo mu ggwanga lyaabwe

Kamisona akola ku nsonga zababundabunda mu minisitule ekol ku bigw abitalaze, David KAzungu agamba nti abantu bano balina eddembe okusigala gyebaddukidde.

Omuwendo gwa bantu abadduka mu South Sudan gutuuse ku bantu emitwaalo 5 nga bano basing mu bifo ngaa Adjumani, Kiryandongo ne Arua

Bano nno badduka kulwana okutasalangako okuva omwaka oguwedde ngamaggye ga gavumenti galwana n’aga bayeekera abagaala okuvuunika gavumenti

Ggwo omuwendo  gwa bannayuganda abaddayo munda mu ggwanga lya south Sudan gweyongedde.

Omu kubaddukanya emirimu ku kampuni ya bus eya Bakulu Fagil Agala agambye nti kati batika bus 4 buli lunaku bwogerageranya ne bus 3 zebali batwala kundandikwa y’omwaka.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *