Amawulire

Teri kuvuga nga munywedde

Ali Mivule

December 19th, 2013

No comments

drunk driving

Poliisi erabudde ba dereeva abagenda okwekamirira enkangali  mu nnaku enkulu ate bamale bavuge , nti baakukwatibwa.

Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga  Dr. Steven Kasima , agamba  abanakwatibwa bakumala ebbanga erisukka mu wiiki mu  buduukulu  , kubanga kooti zijja kuba ziwumudde nga ate baba balina okuvunanibwa emisango gy’okumenya amateeka g’okungudo.

Ono akubirizza abantu bonna obutavuga  nga batamidde

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *