Amawulire

teri kutunda ttaka lya Kampala Parents

Ali Mivule

September 10th, 2014

No comments

Kampala parents

Kkooti eyisizza ekiragiro ekiyimiriza okutunda ettaka okutudde essomero lya Kampala City Parents School.

Omuwandiisi wa kkooti y’ebyobusuubuzi Thaddeus Opeseni y’ayisizza ekiragiro kino.

Ettaka lino banka ya Uganda Development bank ebadde yalyezza oluvanyuma lw’essomero okulemererwa okusasula obukadde 700 zeeryewola

Ettaka eryogerwaako lisangibwa Kibiri mu disitulikiti ye Wakiso

Ekiragiro ekiyisiddwa kyakugendera ddala mu maaso okutuuka nga 24 omwezi ogujja omulamuzi Henry Adonyo lw’anatandika okuwulira omusango.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *