Amawulire

Tayebwa ayanukudde ab’oludda oluvuganya abediimye

Tayebwa ayanukudde ab’oludda oluvuganya abediimye

Ivan Ssenabulya

February 4th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti tekolera ku ssale ssale agiweebwa abantu abenjawulo.

Bino byogeddwa Nampala wa gavumenti Thomas Tayebwa bwabadde ayanukula ku kyakoleddwa ababaka aboludda oluvuganya gavumenti, nga babanja obwenkanya eri abantu abatulugunyizbwa nabazze bawambibwa.

Bano baakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathius Mpuuga nebekandagga okufuluma palamenti, bagambye nti baakudda mu bbanga lya wiiki 2.

Kati bwabadde ayogerako naffe Tayebwa agambye nti tebajja kuterebuka olwabavuganya gavumenti.

Abasabye baddemu bekube mu mutima.