Amawulire

Tanga Odoi Yajemedde Kooti

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2017

No comments

KIBANDA

Ssentebbe wakakiiko kebyokulonda  mu kibiina kya  NRM Dr. Tanga Odoi yazimudde  ekiragiro kya kooti enkulu eyalagidde okuyimirizza okulonda kwakamyufu ku kifo kyomubaka we ssaza lye Kibanda mu district ye Kiryandongo.

Kooti enkulu e Masindi olunaku Olwo’kutaana yalagidde okulonda okwakamyufu mu kibiina kya NRM kuyimirizibwe oluvanyuma lwomu ku bavuganya ku kifo mu NRM, Sam Otada okudukira mu kooti ngagamba nti Taban Idd Amin, tatekeddwa kuvuganya mu kamyufu kano, kubanga ensonga ezamugobya mu palalmenti tanazitereeza.

Taban Amin yajibwa mu palamenti, olwamanyi ge agaali gatakwatagana nagakakiiko kebyokulonda

Okuyimirizza okulonda kwakoledwa omumyuka womuwandiisi wa kooti Julie Acioon, wadde nga  Tanga Odoi agaanyi okugoberera ekiragiron kino.

Odoi ategezezza olupapula lwa Daily monitor nti abadde tamnafuuna ku baluwa eyimirizza okulonda kuno, era nasalawo nti okjulonda kwakugenda mu maaso.

Kati kwo’kulonda okwenvunula bibya kwakubaawo omwezi ogwa 8 nga ennaku zo’mwezi 10