Amawulire

Taata w’omugenzi Oulanyah azeemu okulumiriza, ”mutabani wange bamuwa butwa”

Taata w’omugenzi Oulanyah azeemu okulumiriza, ”mutabani wange bamuwa butwa”

Ivan Ssenabulya

April 8th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Muzeeyi, Nathan Okori, taata w’omugenzi Jacob Oulanyah azeemu nalumiriza nti mutabani we bamuwa butwa.

Ono ayogeddeko eri abazisi, abakuganidd ku ssomero lya Ajuri P/S mu gombolola ye Lalogi mu disitulikiti ye Omoro, ngagambye nti mutabani we yamutegezaako ku nsonga eno.

Kino asabye abantu okukitwala mu mutima mulungi, nga bino byonna ssentekaggale wa DP, Nobert Mao yabadde amuvvunula.

Okori era asabye gavumenti okuyambako ku baana bonna omugenzi babadde alabirira, era asabye sipiika wa palamenti Anita Among okufaayo okukuuma ebyobugagga byomugenzi, byalese.

Wabula kinajjukirwa nti alipoota zabasawo, zalaga nti omugenzi yafa kokolo, nobuvune obulala obwali butuuse ku bitundu bye byomunda mu mubiri.

Bino byali mua alipoota eyasomwa minisita webyobulamu Jane Ruth Aceng.

Mu kusooka, Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda eyawummula Henry Luke Orombi asabye abakulembeze mu kitundu kyamambuka gegwanga, negwanga awamu okuteekanga Katonda mu kifo ekisooka.

Ayogeddde ku busosoze mu mawanga, obukyayi, okweyagaliza nebirala byalabudde nti bigenda kukosa ensi.

Wabula wakati mu kusaba okubadde kugenda mu maaso, empewo eyakazimu enawuse nekub ku ttaka weema ebadd yatekeddwamu omubiri gwomugenzi Oulanyah.

Kino kireseewo akajagalalo okumala edakiika, ngoluvanyuma embeera emaze nedda mu nteeko.

Okusaba kuno kwekukulembeddemu okugalamiza omugenzi mu nnyumba ye, eyoluberera okugenda okuberawo eggulo lya leero.