Amawulire

Taata wa Gen Sejusa afudde

Ali Mivule

September 24th, 2014

No comments

sejusa new

Mu mawulire g’ennaku Taata wa David Sejusa abanji gwebamanyi nga Gen Tinyefuza  Mzee Simon Peter Rwajojo afudde.

Ab’oluganda lw’omugenzi bategezezza nga omugenzi bwasizza omukka ogusembayo nga bukya olwaleero mu ddwaliro ekkulu e Mulago mu ward 6 gyeyatwalibwa nga ekirwadde ky’omutima kimuli bubi.

Omwogezi w’eddwaliro ly’emitima  Chris Kwesiga agamba  Muzeeyi Rwajojo azze ajanjabibwa mu ddwaliro lino naye nga tewali nkyukakyuka yonna.

Kigambibwa okuva wiiki ewedde  omugenzi abadde  aliira mu nseke oluvanyuma lw’okukeberebwa mu kyuuma kya CT-Scan.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *