Amawulire
Taata atisse muwala we olubuto
Bya Abubaker Kirunda
Waliwo omusajja ow’emyaka 47 akwatiddwa olw’okusindanga omukwano ne muwala we.
Omukwate mutuuze ku kyao Nabitende mu gombolola ye Kidago mu district ye Iganga, nga kigambibwa nti abaddenga asoborera muwala we owemyaka 14, nayingira mu kisenge mwasula neyeriomba naye.
Atwala poliisi mu kitundu William Nsubuga agambye nti bino, okubitegeera ngomwana ali lubuto lwa myezi 3.
Omuwala yeyalopye ku poliisi nga kitaawe bwabaddenga amusobyako.