Amawulire

Taata asibiddwa emyaka 45 lwakutta mutabaniwe

Taata asibiddwa emyaka 45 lwakutta mutabaniwe

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Kkooti enkulu e Mukono eriko taata gwesindise mukomyo amaleyo emyaka 45 oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango gwo kwekobaana ne mukaziwe ne batta mutabani wabwe.

David Buyinza wa myaka 33 omutuze we Kisawo mu district ye Kayunga yakaligiddwa.

Oludda oluwambi nga lukulembeddwamu omuwambi wa gavumenti George Bigirwa lutegezeza nti Buyinza yekobana ne mukazi we Zaina Babirye nebatuga omwana Charles Odongo (8) nga 24/8/2014.

Kkooti bagitegezeza nti bombi abo baasiba empale mu bulago bw’omwana ne bamutuga ne bamutta oluvanyuma omulambo ne bagusuula munyumba eyali tenaggwa kumulirwano era nga abamu ku balirwana basobola okubalaba nga bava okugusulayo.

Puliidawe Salim Khalid asabye Kkooti aweebwe ekibonerezo ekisamusamu nti kuba gwe mulundi gwe ogusoose okuzza omusango.

Bwabadde awa ensala ye omulamuzi ali mu mitambo gya Kkooti eno Margret Mutonyi agambye nti Ttaata talina kubeera mu bantu olw’ekikolwa kyeyakola kuba yalina obuvunanyizibwa okukuuma n’okwagala omwana oyo kyatakola nasalawo okumutta nga ayambibwako mukaziwe

Yye Babirye yasibibwa emyaka 7 oluvanyuma lw’okukiriza omusango nga ayita mu nkola ya Plea bargaining.