Amawulire

Taata afunyisizza omwana olubuto

Ali Mivule

July 24th, 2013

No comments

ssenkumbi

Omuzadde abadde afuuse namunswa akwatiddwa

Omusajja ono ategerekese nga Robert Kaye abadde asooberera muwala we n’amusobyaako ng’atuuse n’okumutikka ettu

Omusajja ono yeeyasoose okuwaaba ku poliisi nti muwala we ali lubuto kyokka ng’omuwala ono amuwemukidde n’amusongamu nga bulijjo bw’amukozesa.

Omwana ono takomye awo n’asonga mu musomesa we John Baptist Kigundu gw’agamba nti naye abadde amukozesa

Omuwala ono agambye nti buli bw’abadde agenda ku ssomero ng’omusomesa we amukozesa ate nga ne bw’adda ewaka nga ne kitaawe naye atandikira wo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino, Lameck Kigozi agambye nti ababiri bagenda kuvunaanibwa gwa kusobya ku mwana atannaba kwetuuka nga bwebalinda omuwala okuzaala okuzuula ani nanyini lubuto.