Amawulire

Ssiriimu akendedde naye ali waggulu mu bakazi

Ssiriimu akendedde naye ali waggulu mu bakazi

Ivan Ssenabulya

December 21st, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Akakiiko akavunayizbwa ku kulwanyisa mukenenya mu gwanga aka Uganda AIDs Commission bategezezza nga bwewabaddewo okudirira kwabitundu 50%, mu miwendo gyabalwadde ba mukenenya abappya.

Emiwendo giraga nti ebibalo gyekendedde okuva mitwalo 9 mu 4,000 nga bwegwali mu 2010 okudda ku mitwalo 3 mu 8,000 mu 2020.

Ssentebbe owakakiiko kano Dr. Eddie Mukooyo yagambye nti okukendeera kweyolekera nemu biblo ebiwata ku bulwadde mu gwanga lyonna, ku 5.4% wabulanga mukenenya asinga mu bantu wakati wemyaka 15 ku 49.

Wabula era ssiriimu ali waggulu mu bakazi ku 6.8% bwogerageranya ku 3.9% mu basajja.

Dr. Mukooyo alina essuubi nti bajja kusobola okutuuka ku kirubirirwa ekyokukendeeza ssiriimu omwaka 2030 wegunatukira.