Amawulire

Ssentebe wékyalo ne Namukadde basimatuse abébijjambiya

Ssentebe wékyalo ne Namukadde basimatuse abébijjambiya

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Namukadde Joweria Nakirijja ow’emyaka 68 awonedde watono okuttibwa abatemu abebijjambiya e Masaka bwebazinzeeko amaka ge nebatandika okutema endabirwamu z’amadirisa n’oluggi basobole okuyitawo.

Bino bibadde ku kyalo Kkingo,mu gombolola ya Kimaanya-Kabonera mu kibuga Masaka.

Okusinziira ku nganda za Nakirijja, abatemu bano bazze saawa bbiri nebatandika okumulisa tooki,n’ebakuba amataala g’ebweru nebagaasa nga bwebabakudaalira nti katulabe anajja obayamba.

Abatemu bano tebakomye wa Nakirijja wokka Wabula ne ssentebe we kyalo kino, Ronald Kateregga naye abatemu baabadde bagala kumutema era ekyayambye bwebutayimbwa obuli mu luggi.

Kati abatuuze bagamba nti ekibataasizza ye nduulu gyebalayizza ebayambye ab’omulirwano okuwulira nebongera okulaya enduulu era awo ssentebe Kateregga waakubidde police nejja netaasa namukadde.

Poliisi etuuse abatemu bakyaliwo kyokka bakubye amasasi mu bbanga nebadduka.

Kati namukadde olwa bino byonna ebibaddewo,azirise era ali mu ddwaliro ekkulu e Masaka afuna bujanjabi.

Ebijambiya bifuuse baana baliwo mu bitundu bye Masaka era nga wetwogerera abantu abaakattibwa bawera 20 nga police egamba yaakakwata abantu abawerera ddala 38.