Amawulire

Ssentebbe we Masaka akukuluma

Ssentebbe we Masaka akukuluma

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2019

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Sentebe wa district ye Masaka Jude Mbabaali akukkulumidde abakulembeze ba district ye Lwengo ne Kalungu olwokubawuddiisa ku kyokubawa amagombolola okugagatta ku Masaka, okusobola okuweza omuwendo gwabantu abayinza aokubeera mu kibuga ekinene ekiri ku mutendera gwa City.

Jude Mbabaali asinzidde Kijjabwemi ku ssomero lyabaliko obulemu naagamba nti basazeewo District ye Masaka yonna okujifuula city olwensonga nti erina abantu abajisobozesa okufuna city.

Kinajjujirwa nti minister wa gavumenti ezebitundu Tom Bitime yajja e Masaka, nalagira nti betereeze gavumenti yaakubawa ekibuga.