Amawulire

Ssentebbe Akirizza Okubba Amabaati ge’Ssomero

Ivan Ssenabulya

May 13th, 2017

No comments

Bya Eria Lugenda-Kayunga

Ssentebe wakakiiko akafuga essomero amaaso gamumyuuse bwebamulumiriza okubba amabaati gavumenti  geyawa essomero.

Ssentebe wakakiiko akafuga essomero lya Nongo C/U Primary School elisangibwa mu ggombolola ye Kitimbwa abazzadde, nga bakulembeddwamu Kaddu Ndereya  bamutadde ku nninga mu lukiko  olutudde ku ssomero, annyonnnyole gyeyateeka eminnwe gyamabaati 36 egyafikka

ku kizimbe gavumenti kyeyazimbira essomero.

Ono abazadde bamutabukidde nebayisa ekiteeso okugenda mu makaage  ge era ngeeno amabaati gasangiddwa nga yagakomeleza enyumba ye nga gabaddeko ne Laama ya gavumenti, nasaba bamusonyiwe.

Kati tekinategerekeka ono kiki ekigenda okumukolebwako ngekibonerezo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *