Amawulire

Ssente z’abakade zetaaga okwongerwako okuva 25,000/- okudda ku 50,000/-

Ssente z’abakade zetaaga okwongerwako okuva 25,000/- okudda ku 50,000/-

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Save the Children, ekitongole kyobwanakyewa ekitakabanira eddembe lyabaana bagamba nti abaana okwetoloola egwanga, bayita mu kusomozebwa kungi, era tebamanyisiddwa kimala ku buyambi bwebatekeddwa okufuna okuva mu gavumenti.

Michael Ochirechan, akulira embeera z’abaana oba Head of Youth Empowerment and Livelihoods ku kitongole kino, agambye nti okusomozebwa okwajja mu byenfuna olwa ssenyiga omukambwe kulina kinene kyekwakosa abaana.

Agambye nti ddala ebizibu bingi abaana byebafunye awaka, nga tebali mu masomero.

Ono ayogedde ku ntekateka ya gavumenti eya Social Assistance Grants for Empowerment (SAGE) eyabakadde, ngabaana 6% bokka bebaganyulwa okugeza mu byenjigiriza, ku mitwalo 2 nekitundu eziweebwa ba jajja baabwe buli mwezi.

Ono ayagala ensimbi zino zongwerako okutuuka, wakaiiri ku mitwalo 5 kubanga ziriko bingi, okuli nobuvunayizbwa bwabaana.