Amawulire

Ssematimba agugulana nab’eMukono lwattaka

Ssematimba agugulana nab’eMukono lwattaka

Ivan Ssenabulya

October 28th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Eyaliko omubaka wa Busiro South Peter Ssematimba atanudde okugugulana nabatuuze ku kyalo Katega mu gombolola ye Kyampinsi e Mukono, lwattaka.

Ono azze mu kitundu nategeeza abatuuze nga bwebalina okwamuka ettaka lyagamba nti lirye, abatuuze kwekumuviira mu mbeera.

Abatuuze bagamba Sseatimba yasooka kujja nasenda emmera yaabwe ngagamba nti baliwo mu bukyamu, bagamba nti Twaase Ben ne Ssebalu Paul bebamanyi bannayini ttaka.

Twaase Ben omu ku bagambibwa okubeera banayini ttaka agambye nti Ssematimba, ebiwandiiko byalina bigingirire.

Kati Ssematimba naye ayanukudde, agamba nti ettaka lirye, era tebajja kumulemesa kukola mirimu gye.