Amawulire

Ssemaka yetugidde mu kabuyonjo

Ssemaka yetugidde mu kabuyonjo

Ali Mivule

February 9th, 2014

No comments

bwaise toilets

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo kyebe mu gombolola ye kyebe mu district ye Rakai, ssemaka atemera mu gy’obulu 42 bwasazeewo okwetugira mu kabuyonjo.

Paulo Lubega yaasangidwa mu kabuyonjo nga alengejja, wabula nga kigambibwa nti entabwe yandiba nga yavudde kubbula lya nsimbi.

Betty Nakawombe nga yemukyala w’omugebnzi, ategeezeza nti baawe yakomyewo kiro nga munakuwavu,namutegeeza nti tafunye nsimbi nga bweyabade akisuubira, wabula kimwewunyisiza ate okumusanga mu kabuyonjo nga alengejja

Noah serunjogi nga ono yaayogerera police mu maserengeta ga Uganda ,agambye nti ono okwetuga yakozesezza saati, wabula nga mukaseera kano omulambogwe gutwalidwa mu dwaliro okwongera okugwekebejja.