Amawulire

Ssegirinya ne Ssewanyana basindikibwa ku alimanda

Ssegirinya ne Ssewanyana basindikibwa ku alimanda

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2021

No comments

Bya Malik Fahad,

Kkooti enkulu etuula e Masaka egudde omusango gwobutemu ku ku mubaka wa Kawempe North mu palamenti Muhammed Ssegirinya ne munne owa  Makindye West, Allan Ssewanyana  ne basindika mu kkomera e Kitalya.

Ababiri bano bavunanibwa okubera emabega wóbutemu bwe bijjambiya obubadde mu bitundu byo bwagagavu bwe Masaka omwafiira abantu abakunukiriza mwa 30.

Omulamuzi bano abagudeko emisango 4 okuli ogwobutemu nokugezako okutta.

Oludda oluwaabi nga lukulembedwamu Richard Birivumbuka lugamba nti ababaka babo batekateeka obutemu buno nga basinzira ku woteeli eya Happy Boys, Kalenda, ne Kayanja Rest House mu Kampala.