Amawulire

Ssebaana afudde

Ali Mivule

July 3rd, 2017

No comments

Bya Stephen Mbidde

Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya DP John Ssebaana Kizito afudde.

Omugenzi y’afiiridde mu ddwaliro  e Nakasero gy’amaze wiiki ssatu ku kitanda ng’ajjanjabibwa.

Olunaku lw’eggulo embeera ya Ssebaana y’azzemu  okutabuka ne bamuzza ku byuma ebiyamba okussa n’azzibwa ne mu kasenge k’abayi  gye yasookera bamuwe obujjanjabi obw’enjawulo.

Ssebaana abadde y’asanyalala ku bwongo  n’ebitundu by’omubiri eby’enjawulo.

Wiiki ewedde, Ssaabasajja Kabaka ne Katikkiro Charles Peter Mayiga baamukyalira okumulabako kyokka .

 

Loodi meeya wa kampala Ssalongo Erias Lukwago y’omu ku basoose mu ddwaliro lye Nakasero ewabadde omugenzi.

Ate eyali ssenkaggale w’ekibiina kya DP nga yesimbawo ku bwapulezidenti mu 1996 Paul Kawanga Ssemwogerere ategezezza nti abantu b’omulembe guno basaanye okulabira ku mugenzi kubanga aweerezza eggwanga lye mu bwesimbu.

Mungeri yeemu n’obwakabaka bwa Buganda bukungbadidde musajja waabwo mukwata ngabo.

Amyuka Katikiro wa Buganda namba 3 Apollo Makubuya ategezezza nti Buganda efiiriddwa  omuwabuzi omuzibu okusanga ku mulembe guno.

 

Ssebaana y’aliko meeya wa Kampala era ssenkaggale w’ekibiiina kya DP

John Ssebaana Kizito kati omugenzi  yavuganya ku Bwapulezidenti  bw’eggwanga mu kulonda kwa 2006.

 Ssebaana y’azaalibwa nga 12th– September 1934 era y’assomera ku – Ndejje Junior S.S wakati wa  1945 ne  1951 oluvanyuma neyegatta ku  Kings College Budo okuva mu  1952 okutuusa mu  1954.

Ssebaana yakoonola diguli mu byenfuna e Makerere mu 1960 era omwaka ogwo gwenyini neyeyongerayo ku yunivasite ya Oregon mu Amerika n’afuna masters mu 1962.