Amawulire

Ssalessale wokukyusa paasipoota asigaddeko emyezi 2

Ssalessale wokukyusa paasipoota asigaddeko emyezi 2

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Banna-Uganda kati basigazza emyezi 2 okukyusa passporta zaabwe, enkadde bafune empya ezomukago gwa East Africa Community eziyungiddwa ku mutimbagano oba E-passport.

Gavumenti okuyita mu minisitule yensonga zomunda mu gwanga nekitongole ekivunanyizbwa ku bantu abayingira nokufuluma yatekawo ssalessale wanga 4 April eri abakyalina passporta enkadde.

Bwabadde awayaamu nomusasai waffe, omwogezi wa minisitule yensonga zomunda mu gwanga Jacob Simunyu agambye nti kino kikola eri na bona abagala okutambula.

Wabula agambye nti wabaddewo okweyongera mungeri abantu gyebajumbira okukyusa passporta bwogerageranya nga bwegwali ngegfwanga terinagenda mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe ogwasokera ddala.

Ebibalo biraga nti baakubanga passporta 1,000 buli lunnaku, wabula kati passporta eziri mu 1,500 zezifuluma buli lunnaku.