Amawulire
Ssabasumba Lwanga awabudde gavumenti
Bya Moses Ndaye, Akakiiko akataba enzikkiriza mu ggwanga aka Uganda Joint Christian Council kasabye gavumenti eddemu yekenenye enkola ekwata ku kusomesa abaana mu masomero ebikwata ku mukwano.
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga agamba nti bbo nga bannaddiini tebakkiriziganya na nkola eno kubanga gavumenti yagitongoza tebeebuuzidwako.
Ssabasumba Lwanga asabye gavumenti okusa ekitiibwa mu ndagano gye bakola n’amakanisa agalina amasomero agayambibwako gavumenti.