Amawulire

Ssabasajja asiimye

Ali Mivule

May 1st, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ssabasajja asiimyeokulabikako eri obuganda mu saaza lye elye Buddu  okuggulawo emipiira gyamasaza nga ennaku zomwezi 13  omwezi guno ogwokutaano.

Bino byasanguzidwa Katikkiro  wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye baddiifiri abagenda okulamula emipiira gy’Amasaza okuba abeerufu n’okulinnyisa omutindo nga balamula empaka zino.

Katikkiro ategezezza nti Empaka z’emipiira gy’Amasaza ziri ku mutendera gwa waggulu kuba gibeerayo buli kaseera ate n’egyettanirwa abantu bangi ekitegezza nti omuntu bw’azikozesa obulungi kimwanguyira okweyongerayo ku ddaala.

Ono atangazizza o nti omukulu wEssaza yalina obuvunaanyizibwa ku ttiimu era abaddukannya ttiimu bwe bafuna obutakkanya gwe balina okutuukira kati  asabye abawagizi okulaga empisa nga bawagira okusobola okukuma omulamwa gw’okunyweza enkolagana mu bantu ba Ssaabasajja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *