Amawulire

Ssabasajja asiimye okuggalawo olukungana lwa bakyala

Ssabasajja asiimye okuggalawo olukungana lwa bakyala

Ivan Ssenabulya

May 11th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II wakuggalawo olukungana lwa bakyala oluvanyuma lwebbanga eddene nga talabikako eri obuganda.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire e Bulange Mengo, katikkiro wóbwakakaba buno Charles Pater Mayiga, agambye nti tabamiruka ono owolunaku olumu wakubeerawo ku lwokutaano lwa ssabiiti eno mu Lubiri lwa ssabasajja e Mengo

Mayiga akubiriza bonna abagenda okwetaba mu lukungana luno olwewandiisa mu yaffeesi ya minisitule evunanyizibwa ku kikula kya bantu olwentekateka ennungi.

Mungeri yemu Kamala byonna wa Buganda Chalres Petr Mayiga yeyamye okwongera okuweereza Omutanda nómutima gumu.

Olunaku lwenkya Mayiga lwaweza emyaka 9 nga aweereza mu kitiibwa ekya Katikkiro wa Buganda.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku mbuga enkulu e bulange e Mengo Mayiga yebaziza katonda okumusobozesa okuweereza obuganda mu bwessimbu ate nókuvirako enkulakulana mu bwakabaka.

Kinnajjukirwa nti mu bukulembezebwe yajja ne pulogulamu eyókusonda ettofaali, omwava ensimbi ezazimba ekizimbe kya Masengere, nókuzaawo amasiro gé Kasubi agakwata omuliro.

Mayiga era yeyakulemberamu pulogulamu ya Mwannyi Terimba ngókuyita muyo abantu ba Buganda bakubiriziddwa okujjumbira okulima emmwanyi béggye mu bwavu ne bintu ebirala bingi byakoze.

Ono era yebaziza bannamawulire okutuusanga obubakabwe eri abantu ba ssabasajja.