Amawulire

Ssabasajja akunze ku bulambuzi

Ali Mivule

July 31st, 2013

No comments

Kabaka plants trees

Olwaleero lwegiweze emyaka 20 bukyanga Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 atuuzibwa ku Namulondo

Ssabasajja asoose kukulemberamu kawefube w’okusimba emiti ku luguudo lw akabaka anjagala nga tannasimbula maato agabadde gabbinkan ku Kayanja ke.

Bw’avudde wano n;aggulawo omwoleso gw abuganda ogw’obulambuzi .

Eno gy’asinzidde okubirizza abaganda okwettanira okutumbula eby’obulambuzi naddala ebiri mu bitundu byaabwe.

Nga tannasimba miti, katikiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga yamuyozayozezza olw’obuwanguzi Buganda bw’etuseeko mu myaka 20 gy’abadde ku namulondo

Emikolo emikulu gyakubeera mu lubiri e Mengo ku lunaku lw’omukaaga.