Amawulire

Ssabaminisita alagidde emisango gyabasibwa olwettaka e Mubende giddemu okutunulwamu

Ssabaminisita alagidde emisango gyabasibwa olwettaka e Mubende giddemu okutunulwamu

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2021

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Ssabaminisita wegwanga Robinah Nabbanja alagidde wofiisi ya Ssabawolereza wa gavumenti okuddamu okunonyereza ku misango gyabantu abasibwa olwenkayana zettaka mu gombolola okuli Madudu ne Kiruuma mu disitulikiti ye Mubende.

Abantu abasoba mu 16 baakwatibwa ku misango gyettaka kooti nebasiba emyaka egiri mu 30, atenga abalala bakyali ku alimanda okuva mu mwaka gwa 2018.

Kino kidiridde omubaka wa Buweekula mu palamenti Pascle Mbabazi okutwala abakulembeze nabataka okuva magombolola zino nebasisinkana Ssabaminisita Nabbanja ensisinkano eyakulungudde ennaku bbiri.

Omubaka Mbabazi atubuliidde nti Ssabaminisita yalagidde ssabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka okuddamu okwetegereza emisango gy’abantu bano.