Amawulire
Ssabalabirizi asabye abawambe bayimbulwe
Bya Benjamin Jumbe ne Ivan Ssenabulya,
Ng’abakrisitu bagenda mu maaso n’okukuza ssabiiti entukuvu, ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Dr steven Kazimba Mugalu agasse eddobbozi lye ku bantu abalala nasaba abantu abawambibwa kunsonga ze byobufuzi bayimbulwe.
Bino abyogedde awa bubakabwe obwa mazuukira ga mukama waffe yesu wali ku kanisa eya All Saints Cathedral e Nakasero.
Dr Kazimba agambye nti yadde nga waliwo abavubuka abayimbulwa nayebanabwe abalala bangi bakyakuumibwa mu mbuzi ekogga
Azeemu nasaba bannauganda obutazimula ntekateeka eyokwegemesa ekirwadde kya covid-19