Amawulire

Sipiika Kadaga alabudde gavumenti ku by’ettaka

Sipiika Kadaga alabudde gavumenti ku by’ettaka

Ali Mivule

August 10th, 2016

No comments

kadagaSipiika wa palamenti Rebecca Kadaga asoomozezza gavumenti okwongera amaanyi mu kukuuma ettaka ly’amasomero gaayo nga bwekiba kyakugaziwa ensonga eno eyanguwa.

 

Sipiika okuvaayo bwati kiddiridde eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti Dr. Kizza Besigye okukolokota gavumenti olwokutunula obutunuzi nga bannakigwanyizi babba ettaka ly’amasomero gaayo mungeri etategerekeka.

 

Kati sipiika asabye minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni okufuba okulaba nga ettaka lino likuumibwa.