Amawulire

Shell V-Power enasasulira motoka z’empaka

Shell V-Power enasasulira motoka z’empaka

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Empaka za motoka eza Shell V-Power Pearl of Africa Uganda Rally zitongozeddwa leero ku kitebe kya kampuni ya Vivo Energies Uganda mu Kampala.

Empaka zino za mwetoloolo gwa kusatu ku kalenda ya motoka z’empaka mu Africa era nga zakubeera mu bitundu by’e Jinja okutandika nga 5 omwezi ogujja.

Aba Vivo Energies omwaka guno baakuvujjirira empaka zino n’obukadde 180 eza Uganda wabula era nga bakuvujjirira omuvuzi Ronald Ssebuguzi n’ensimbi obukadde 50.

Okwewandiisa mu mpaka zino kwakomekerezebbwa ku lwomukaaga ng’abavuzi 31 okuli bannansi ba Kenya babiri bakakasizza okuzetabamu.