Amawulire

Sheikh Kamoga ne banne balina okwewozaako

Sheikh Kamoga ne banne balina okwewozaako

Ali Mivule

September 9th, 2016

No comments

kamogaKkooti enkulu wano mu kampala eragidde abaakwatibwa 14 ku misango gy’okutta bamaseeka 2 okuli shiekhMustafa Bahiga ne  Ibrahim Hassan Kirya bagende mu maaso n’okwewozaako.

Kino kiddiridde omulamuzi  Justice Duncan Gaswaga okukakasa nga bano bwebaguddwako emisango 4 okuli ogw’obutujju, obutemu n’okugezaako okutta Sheikh Haruna Jjemba .

 

Nga tanawa kilagiro kino, omulamuzi Gaswaga alaze obujulizi bwebagenda okukozesa okuvunaana 14 bano era n’ategeeza nti kyetagisa bano balabikeko mu maaso g’abalamuzi 3 abagenda okuwulira omusango guno.

Kati abakwate bano okuli akulira abatabuliiki be Nakasero Sheikh Yunus Kamoga ne mugandawe  Sheikh Siraje  Kawooya bakomezebwewo mu kkooti omwezi ogujja nga   17th/October 2016 batandike okuwulira omusango gwabwe.

Kati bano bakulabikako mu maaso g’abalamuzi abasatu okuli Ezekiel Muhanguzi,Percey Tuhaise ne Jane Kiggundu .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *