Amawulire

Seya alemeddeko

Ali Mivule

February 3rd, 2014

No comments

seya

Kooti yakutandika okuwulira okwemugulunya kw’eyali meeya wa kampala Alhajji Nasser Ntege ssebaggala nga yemulugunya ku bamujerega ku luzungu

Yawaaba ba kkampuni ya MTN lwkaukozesa bigambo bye eby’oluzungu mu buyimba bwaayo eri ba kasitoma

Sseya agamba nti aba MTN tebamwebuuzaako kukozesa doboozi lye

Ayagala kooti ayise ekiragiro ekiyimiriza MTN okukozesa ebigambo bye ayagala era ku buli kasitoma eyakozesa akayumab kano afunako ebitundu 20 ku kikumi ku nsimbi ezasabwa ba kasitoma.

Ayagala era MTN emusasule eow’okwonoona eriinya lye ng’emujeregera mu bigambo bye ate esasule n’ensimbi zonna z’akozesezza mu musango.

Kooti egamba nti yakutuula nga 28 mu gw’okuna okutandika okuwulira omusango guno mu maaso g’omulamuzi Judge Christopher Madrama.