Amawulire

Sejusa y’akyakulira ekitongole ekikessi

Ali Mivule

October 1st, 2013

No comments

Sejusa

General David Sejjusa y’akyakulira ekitongole ekikessi mu ggwanga.

Bino abyogedde ye minister omubeezi akola ku by’okwerinda, Jeje Odong bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa akanonyereza ku nneyisa ya Sejusa ey’okusuulawo emirimo

Odongo agamba nti Sejjusa tagobwangako mu maggye ate ng’era tebannafuna amuddira mu bigere.

Ono wabula agamba nti ssinga anakomawo wakaunyonyola lwaki yadduka ku mirimo nga tayogedde okusukka ennaku 21 nga tafunye lukusa

Akakiiko kano olwaleero kalagidde Sejjusa okuleeta obujulizi obulaga nti obulamu bwe buli mu matigga nga kino wakukola ku lw’okuna