Amawulire

Samia Suluhu Hassan assubirwa mu Uganda olwaleero

Samia Suluhu Hassan assubirwa mu Uganda olwaleero

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we gwanga lya Tanzania, Samia Suluhu Hassan asubirwa mu gwanga olwaleero, ku bugenyi obutongole.

Ono yayitiddwa omukulembeze wa kuno, Yoweri Museveni.

Okusinziira kuba minisitule yensonga ze bweru we gwanga, nomuwandiisi wa pulezidenti Don Wanyama, omulamwa gwobugenyi buno omukulu, kwekwongera okunyweza enkolagana wakati wa Uganda ne Tanzania.

Abakulembeze bamwanga gombi era basubirw aokuteeka emikono ku ndagaano ey polojekiti yomuddumu gwamafuta eya, East Africa Crude Oil Pipeline.

Samia Suluhu, yeyali omumyuka w’omugenzi John Pombe Magufuli, era yeyamuddira mu bigere.