Amawulire

Sam Njuba afudde

Ali Mivule

December 13th, 2013

No comments

Njuba dies

Ssentebe wekibiina kya FDC Sam Kalega Njuba afudde.

Amawulire gano gakasidwa omukulebeze w’okudda oluvuganya gavumenti  Nathan Nandala Mafaabi.

Njuba affiridde mu dwaliro e Nsambya gy’abadde ajjanjabibwa .

Eyali president wa FDC Dr. Kiiza Besigye ayogedde ku Njuba ng’abadde omusajja omulwanirizi we Dembe.

Besigye agambye njuba abadde tatiririra mazima era awaddeyo obulamu bwe okulwanirira demokulasiya.

Ssentebe wa FDC mu Buganda Yusuf Nsibambi agambye ntu Njuba alongoseddwa emirundi egiweze, okutuusa lw’afudde.

Nsibambi agambye nti Njuba abadde Musajja ayagala enyo eggwanga lye.

Njuba yaliko omusomesa w’amateeka mu Makerere university era yaliko ssentebe w’ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law society.

Ono era yaliko minisita wa ssemateeka mu gavumenti  ya NRM mu 1986 era yaliko omubaka wa palamenti  owa Kyadondo east mu district ye Wakiso.

Kitalo nyo.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *