Amawulire

Rwanda daaki eguddewo ensalo

Rwanda daaki eguddewo ensalo

Ivan Ssenabulya

January 28th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Gavumenti ya Rwanda erangiridde nga bwebaguddewo ensalo yaayo ne Uganda eye Katuna/Gatuna ngeno ebadde egaddwa okumala emyaka 3.

Kinajjukirwa nga 28 February mu 2019, Rwanda yaggala ensalo nga baategeeza nga bwebaliko emirimu gyebaali bagenda okukola, okutereeza ensalo.

Oluvanyuma Rwanda yayimiriza bannansi baayo obutajja Uganda, nga balumiriza nti Uganda okukwata nokutulugunya bannansi baabwe.

Emmotoka zebyamaguzi zaasigalira kuyita ku Mirama hills ne Kyanika mu disitulikiti ye Ntungamo ne Kisoro, wabula abamu babaddenga bagamba nti eyo wala.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omubaka wa Uganda mu kibiina kyamawanga amagatte Amb Adonia Ayebare, gavumenti ya Rwanda esazeewo okuggulawo ensalo eno nga kigenda kutadika okukola nga 31 January 2022.

Okusinziira ku kiwandiiko kino, kikoleddwa oluvanyuma lwenteseganya ezatukiddwako wakati womudumizi wamagye ga UPDF agoku ttaka era mutabani wa pulezidenti Museveni Lt Gen Muhoozi Kainerugaba ne pulezidenti wa Rwanda Paul Kagame.

Bagambye nti nti gavumenti ya Uganda ne Rwanda bagenda kukolera wamu, okukebera ssenyiga omukambwe nokutereeza entambula yabantu nebyamaguzi.

Rwanda era essubizza nti bagenda kwongera okutereeza ensonga ezibadde ziberumyarumya.