Amawulire

Rubalamira asaze eddiiro

Ali Mivule

October 25th, 2013

No comments

Rubalamira

Abadde akulira akakiiko k’eby’okulonda mu kibiina kya FDC ,munnamagye eyawumula  Maj Rubalamira Ruranga ategezezza nga bwatejusa kusala diiro kuddayo mu kibiina kya NRM.

Ng’awayaamu ne  Dembe FM, Ruranga ategezezza nga bw’amaze obulamu bwe obusinga nga atoba n’ekirwadde kya mukenenya nga ate pulezidenti naye abadde musaale mu kulwanyisa obulwadde buno kale nga yeetaga okumuwagira.

Ono ategezezza nga bweyejusa byonna by’azze akolokota pulezidenti nti era okutabagana y’enkola yokka enatwaala eggwanga maaso.

Mu ngeri yeemu awadde ab’ekibiina kya FDC amagezi naddala abakulembeze okumalawo enjawukana mu kibiina kino ekibiina bwekiba kyakuddamu okufuna obuwagizi mu bantu.

Major Ruranga yoomu ku baalwana ne pulezidenti  Museveni mu nsiko wabula bayawukana nga ba kigwo oluvanyuma lwa pulezidenti  okujjawo ekkomo ku bisanja .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *