Amawulire

Richard Rwabuhinga alondebwa okubeera pulezidenti wa ULGA omugya

Richard Rwabuhinga alondebwa okubeera pulezidenti wa ULGA omugya

Ivan Ssenabulya

November 6th, 2021

No comments

BYA ALEX ASHABA

Ssentebe wa disitulikiti yé Kabarole Richard Rwabuhinga alondebwa okubeera pulezidenti wekibiina omwegatira abakozi ba gavt ezebitundu ki Uganda Local Government Association (ULGA) mu kalulu akakubiddwa olunaku lweggulo Kabarole ku kitebe kya district.

Rwabuhinga yawangudde ekifo kino oluvanyuma lwokufuna obululu 99 ate banne abasatu bwebavuganyiza okuli James Ategeka owe Bunyangabu district yafunye obululu 81, Eng Sam Kajojo Kanugu district yafunye 64 ate Stephen Wasike Busia district yafunye obululu 44.

Okulonda kwakolebwa mu tabamiruka wabwe owomulundi ogwa 26th.

Pulezidenti wa ULGA omulonde Rwabuhinga yeyamye okweyambisa ekisanja kye okukola kunsonga eziruma gavt ezebitundu.

Ono yategezeza nti gavt ezebitundu zifuna ensimbi ntono ezitabasobozesa kukola mirimu bulungi era nasaba gavt eyawakati okwongera kunsimbi zebasindikira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *