Amawulire
Museveni yeyamye okukuuma bannauganda
Bya Moses Kyeyune, Omukulemebeze weggwanga yoweri Kaguta Museveni ayogeddeko eri eggwanga nga asinzira ku woteli ya serena mu kampala.
Mu kwogerako kwe ategeezezza nga gavumenti yye bwegenda okukuuma egwanga lino mirembe,bwategezezza nga emirembe bwegifunibwa olw’okubeera n’obukulembezze obulungi.
Museveni akungubagidde n’abalamazi bannakenya abafiira mu kabenje ke motoka mu ditrict ye mayuge gyebuvuddeko mu kutambula nga bajja e Nmaugongo okujukira abajjulizi ba Uganda.
Era alagidde minisita avunanyizibwa kunsonga zobuvanjuba bwa Africa kirunda kivejinja akole ku by’okuyamba famile za b’enganda za bagenzi.
Pulezidenti Museveni agambye nti eggwanga likulakulanye mu byamakolero nga kati eggwanga lirimu amakolero agasoba mu 4900.
Ono mungeri yemu ategezezza nga Eggye lya UPDF nga likolera wanu n’ebitongole by’ebyokwerinda eggwanga lisobodde okutebenkera n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.