Amawulire
Pulezidenti Museveni wakwogerako eri egwanga
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni wakwogerako eri egwanga mu budde bwakawungeezi.
Okusinziira ku muwandiisi womukulembeze w egwanga kubyamawulire Don Wanyama, omukulembeze wakwogera ssaawa 2 ku nsonga zebyokwerinda enndala.
Kinajjukirwa nti mu kwogera kwe okwasembayo, yakukulumira abantu ababsusizza obulagajjavu nga bangi tebakyagoberera mateeka nebiragiro byabwebyobulamu.
Muno era yalangirirra okuggulawo kwamasomero eri ebibiina ebimu.