Amawulire

Prophet Mbonye anenyezza abakulembeze obutebuuza kuba Nabbi

Prophet Mbonye anenyezza abakulembeze obutebuuza kuba Nabbi

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Bannadiini basabye abakulembeze obutasuliririra ekkanisa ku bizibu byonna ebigenda mu maaso munsi.

Omulanga guno gubiddwa Prophet Elvis Mbonye, bweyadde ku yintaviyu naba NTV Kenya ku Sunday mu pulogulaamu ya Cross Over Show gyeyagenze okunyonyola engeri gyeyasisinkanamu Katonda ku myaka emito 4.

Mbonye yanenyezza zzi gavumenti obutebuuza kuba nabbi nabwereeza ba Katonda, nga bwegwalinga mu nnaku ezasooka ngabakulembeze bebuuza ku nsonga z’obukulembeze, entalo, endwadde n’ebiralala ebyalinga biguddewo.

‘Ensonga tuli wetuli, kubanga emyaka gibadde mingi ng’obunabbi babunyooma nokubunafuya, yensonga lwaki kati osanga banabyabufuzi atenga bebakulemera ekkanisa okwawukana ku bwekyandibadde’ Mbonye bweyategezezza.

Yanenyezza n’ekkanisa olwokutambulira ku mateeka amakakali, nga basalira abantu omusango, mu kifo kyokubasikiriza okujja mu kkanisa bakyusibwe Yesu Chrisito.

Mbonye mu bigambo bye yagambye nti, ‘Mu biseera bya Bayibuli, abakulembeze bebuzaanga kuba nabbi ku byentalo nayenga bannabbi tebaliinga balwanyi, ku nsonga zebyenfuna naye olwaleero tulina endwadde munsi wonna ziganiddewo…’

Kino agambye nti yensonga lwaki bannadiini balangiririra okusaba okwegwanga lyonna, naye essaala zaabwe nezitaddibwamu, basaba newataberawo kiberawo.

Bino webijidde ngamasinzizo mu Uganda gakyali ku muggalo, okuviira ddala mu March w’omwaka gwa 2020 ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lwekyayingira mu gwanga.