Amawulire

Prof Ogwanga atandise kawefube w’okusimba emiti

Prof Ogwanga atandise kawefube w’okusimba emiti

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Prof Patrick Ogwang, eyavumbula eddagala lya Covidex ouva mu muddo, erikozesebwa mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe abakanye ne kawefube okusimba emiti, kubanga eddagala lye likolebwa mu miti na muddo.

Kino agambye nti kigendereddwamu okumulawo ebbula lyebikoesebwa, mu kutambula eddagala lino.

Eddagala lino likolebwa okuva mu muti gwa Warburgia oba Omukuzannume, ngokutandika ku ntekateeka eno kyadiridde kampuni ya Ogwanga Jena Herbals Ltd okuweebwa layisinsi okuva mu Uganda Investment Authorityazimbe ekkomero.

Prof Ogwang kati agambye nti aliko emiti gyasimbye e Mbarara, Nakasongola, Arua ne Entebbe ebika ebyenjawulo ngentekateeka eno agenda kujongeramu amaanyi.