Amawulire

Prof. Nsibambi azikiddwa mu bitiibwa

Prof. Nsibambi azikiddwa mu bitiibwa

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Eyaliko ssabaminisita W’eggwanga lino prof. Apollo Nsibambi azikiddwa mu bitiibwa ku kanisa e buloba mu wakiso disitulikiti.

Prof. Nsibambi yassa ogw’enkomerero ku lw’okubiri lwa ssabiiti ewedde oluvanyuma lw’obwongo bwe okugyamu obutole bw’omusaayi, omuzungu kyayita blood clot.

Omukolo ogw’okumuwerekera gwetabidwako ab’ebitiibwa bangi omubadde omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda, baminisita, ababaka ba palamenti, bannabyabufuzi, n’ab’ebitiibwa okuva mu gavumenti ya beene, ab’enganda abako na b’emikwano.

Amaggye gakubye emizinga 17mu bbanga wakati mu kumusibula.

Wasoose kubaawo kusabira mwoyo gw’omugenzi wali ku lutiko e Namirembe.

Omukulembeze w’eggwanga yoweri museveni ayogedde ku mugenzi prof. Apollo Nsibambi ng’omusajja abadde ayagala enyo eggwanga lye era bannauganda bakumusubwa nnyo.

Bino bibadde mu bubakabwe obusomedwa omumyukawe Edward Kiwanuka Ssekandi mu kusabira omwoyo gw’omugenzi e Namirembe.

Museveni agamba nti mu bulamu bwa prof. Nsibambi bwonna tewali walabikira mu mizze gy’obuli bwenguzi.

Mungeri yemu Museveni ategezeza nti eggwanga lya kusubwa nyo Nsibambi olw’omukululo gwalese mu by’enjigiriza bye ggwanga lino.