Amawulire

Prof Kanyeihamba agenda mu kkooti kubyókwagala okugyawo beyilo

Prof Kanyeihamba agenda mu kkooti kubyókwagala okugyawo beyilo

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Eyaliko omulamuzi wa kkooti ensukulumu eyawumula Prof George Wiliam Kanyeihamba agenda kuddukira mu kkooti etaputa ssemateeka nga awakanya ekyómukulembeze weggwanga Museveni okwagala wabeewo ennongosereza mu ssemateeka mu gibwemu akawayiro akakkiriza abateberezebwa okuzza emisango gyannagomola okweyimirirwa

Omukulembeze weggwanga azzenga awakanya ekyokuyimbula abali ku misango eminene omuli okutta, okukwata abakazi nobutujju nga agamba nti kitataganya enkunganya yóbujulizi.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu makage e Buziga, Prof Kanyeihamba agambye nti ekiteeso kya pulezidenti kikontana námateeka gensi yonna ku ddembe lyóbuntu.

Ono agambye nti okuwa okuyimbula abasibe kiri mu mateeka ate nga kkooti erungamizibwa bulungi kwe bwekirina okukolebwa kale nga tekisanye kugibwawo.